mavii
All
Images
Videos
Discussions
News
News
Bukedde
· 2d
Baby Gloria yeebugira mbaga
Jonas Mbaleka muninkini we, bwe yamaliririzza emikolo gy’okukyala mu bazadde ba Gloria n’ategeeza nti kati obwanga babwolekezza kwanjula na mbaga
Bukedde
· 9d
Eyaliko DPC eyafiiridde mu 'Septic tank' akwasizza mukazi we
EYALI omuduumizi wa Poliisi mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo okuli Jinja Road, Butambala n’ewalala eyasangiddwa ng’afiiridde mu maka ge akwasizza abantu 4 okuli ne mukyala we.
Bukedde
· 8d
Omwana Paapa gwe yasitula ayagala kugenda kuziika
PAAPA Francis lwe yakyalako mu Uganda mu November 2025, yagenda e Namugongo ne Kololo ensi n’ensi y’omuntu gye baakung’aanira okubaawo ng’ekyafaayo kikolebwa.
Bukedde
· 12d
Eby’emmaali ya BMK: Abaana ne minisita Balaam basobeddwa
EBY’EMMAALI ya BMK buli lukya byeyongeramu kasobeza. Mu kiseera kino abaana basobeddwa kye bazzaako bwe bakizudde nti n’ebiragiro bya kkooti biyinza obutabayamba, ate nga ne Minisita Balaam asitudde enkundi ku ssente ze.
Bukedde
· 13d
Bp. Banja yeekokodde ekibbattaka nga twolekera Paasika
Omulabirizi w’e Namirembe, Moses Banja yeekokkodde olw'ebikolwa eby'ekibbattaka, ekiwambabantu n'obulyake mu bitongole bya Gavumenti, n'asaba Kristo akyuse abakola bino mu kiseera kino eky'Amazuukira ge.
Bukedde
· 24d
Abantu 13 bafiiridde mu kabenje e Bugiri
ABANTU 13 be baafiiriddewo n’abalala mukaaga(6) ne babuukawo n’ebisago eby’amaanyi, emmotoka ya takisi ey’ekika kya Drone bwe yatomereganye ne tuleera ku luguudo oluva e Bugiri okudda e Iganda.
Bukedde
· 24d
Owa bodaboda bamufeze
OMUVUZI wa Boda Boda bamufeze 500,000/- nga bamusuubizza okuyingira amagye ng’abamunyaze poliisi ebayigga.
Bukedde
· 22d
Kibuyaga atikkudde akasolya k'essomero
Nnamutikwa w’enkuba abaddemu omuzira ne kibuyaga agoyezza ebyalo 3 mu ggombolola y’e Namabasa n’atikkula amayumba g'abatuuze n’okusuula akasolya ka Watsemba Primary School.
Bukedde
· 22d
Omulamuzi alambudde ettaka erikaayanirwa abatuuze n’ekitongole ky’ebibira
Omulamuzi wa kkooti e Buvuma, Johnson Talemwa atuuzizza kkooti ku ttaka ab’ekitongole ky’ebibira (National Forest Authority, NFA) kwe baagala okusengula abantu abasoba mu 6,000.
Bukedde
· 24d
Owa Iran ayise America beekube
GENERO wa Iran ow'oku ntikko agambye nti beetegefu okulwanagana butereevu ne America, singa Trump abaggulako olutalo nga bwe yasuubizza, singa tebakkiriza kuteesa naye ku bya nukiriya.
Bukedde
· 28d
Ssemaka agambibwa okubaako ky'amanyi ku kubula kw'abaana be akwatiddwa
Poliisi y’e Lwengo ekutte n’eggalira taata gwe twakulaze ku mawulire gaffe nga mukyala we n’abatuuze bamulumiriza okuba ng'alina ky'amanyi ku kubula kw'abaana be babiri abamaze omwezi mulamba nga tebalabikako.
Bukedde
· 23d
Omulambuzi gwe babbyeeko ebintu bye ne ddoola emitwalo 3 n'ekitundu poliisi emuzizzaayo e Iraq
Poliisi y’e kitongole ky’ensi yonna eya “Interpol” etandise okunoonyereza ku bantu abagambibwa nti baanyaze emitwalo gya ddoola za America 3 n’ekitundu ku munnansi wa Iraq abadde azze okulambula amawanga ga Africa.
Bukedde
· 22d
Eyaggyiddeyo bba ekiso mu katambi akaasaasaanye attottodde ; "Byaliwo mu 2021 era yali ava kunkuba"
Omukazi eyafulumide mu katambi nga aggyiddeyo bba ekiso azuuse n’attottola ekyavaako embeera eyo.
Bukedde
· Mar 31, 2025
Mukaamwana atabukidde nnyalazaala we lwa kumulimba
Mukamwana alumiriza nnazaala obutatuukiriza byeyamusuubiza n'okusinga okumuwa poloti, bweyali amusendera mutabani we okumuwasa, alemeddeko nti ssinga tebimuwebwa agenda mu kooti.
Bukedde
· 19d
Gavt. eyanjudde enteekateeka okuzimba ebisaawe by'ennyonyi ebipya
EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku by'ennyonyi mu ggwanga ekya Civil Aviation Authority kikakasizza nga gavumenti bw'eteekateeka okuzimba ebisaawe by'ennyonyi ebipya n'okugula ennyonyi empya gattako okuggulawo engendo eziwerera ddala okwetoloola ensi.
Bukedde
· 22d
Eryato lisse 5 ku nnyanja Nnalubaale
Poliisi mu bitundu by’e Masaka ekakasizza bwe waliwo abantu bataano abaafiiridde mu nnyanja Nnalubaale oluvannyuma lw’omuyaga ogw’amaanyi okukuba eryato mwe baabadde mu kiro ekyakesezza ku Mmande.
Bukedde
· 27d
Poliisi ekutte abantu 5 ku by'omuwala eyafiira mu bbaala e Kololo; Ebizuuse bikanga!
EBIPYA bizuuse ku nfa y’omuwala Martha Murari Ahumuza 23, eyafiira mu bbaala ya Mezo Noir Bar e Kololo mu Kampala gye yali agenze okucakalira.
Bukedde
· 23d
Ebya bbebi eyawanuse ku kkalina n’afa biranze! Bitiisa!
Ebyavudde mu DNA nga April, 4, 2025, bikakasa nti - Nganwa Rugari, eyafudde yabadde azaalibwa Chris Rugari, wadde ng’abaana abalala akasengejja kaabawandula, okuggyako eyasooka yekka.
Bukedde
· Mar 31, 2025
"Omusajja bw'angamba tuyingire obufumbo asooka kumpa bye njagala byonna"
"Abantu tebakimanyi nti layisi agula buwanana"
Bukedde
· 29d
Okukuza amazaalibwa ga Kabaka ; Munnakatemba Ashiraf Ssemwogerere atenda emirundi gy'asisinkanye Ssaabasajja
Ebyaliwo abinyumya abidding'ana olw'amasannyalaze agaaliwo kubanga Ssaabasajja yalina 'amaanyi' nga bavunnama buvunnami
Bukedde
· 17d
Otafire alagidde ekitongole kya poliisi ekikessi okukomya okukwata abantu
MINISITA w’ensonga z’omunda mu ggwanga, Maj. Gen. Kahinda Otafire alagidde ekitongole kya poliisi ekikessi okukomya okukola ebikwekweto ne kikwata abantu nti buno si buvunaanyizibwa bwakyo.
Bukedde
· Mar 21, 2025
UNEB esazizzaamu ebigezo by'abayizi 3,513
EKITONGOLE ky’ebigezo mu ggwanga ekya UNEB kisazizzaamu ebyava mu bigezo bya PLE eby’abayizi 3,513 lwa kwenyigira mu kukoppa.
Bukedde
· 26d
Aba UMEME beetondedde abantu olwa amasannyalaze agabadde gavaako nga tebannawaayo office
Bano beetondedde abantu olw'amasanyalaze agabadde gavaavaako wiiki ebbiri eziyise nga nga tebannawayo buyinza eri ekitongole kyamasannyalaze ekyazze mu mitambo ki Uganda Electricity Distribution Company limited (UEDCL)
Bukedde
· 27d
Ekitongole kya UEDCL kifulumizza emiwendo gy’amasannyalaze emipya
EKITONGOLE ky’amasannyalaze ekya UEDCL kifulumizza emiwendo emipya, egigenda okusasulwa bakasitoma, nga kiddiridde UMEME okuvaawo gye buvuddeko.
Bukedde
· 14d
Munnamawulire Andrew Kyamagero ali mu ddwaaliro
Ono aludde ng’atawaanyizibwa ekirwadde era kigambibwa nti y’ensonga lwaki yasooka n’awummuzaamu n’emirimu gy’amawulire.
Bukedde
· Mar 16, 2025
Omuwala abadde asiika Chappati ne Muwogo okweweerera afunye 16 mu bya S6
Shadia Nankumba eyafunye 16 ku Kyagambiddwa SS e Lwabenge mu Kalungu yagambye nti tekyali kyangu okugabanya obudde bw'okusoma n'okusiika muwogo ne chapati mw’abadde afuna ffiizi n'ebyetaago ebirala.
Bukedde
· Mar 15, 2025
NRM egenda mu kkooti ku byalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda e Kawempe
EKIBIINA kya NRM kiwakanyizza ebyavudde mu kulonda kw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Kawempe North mu Palamenti, era ne kiragira balooya baakyo okuteekayo omusango mu kkooti nga bawakanya ebyalangiriddwa akakiiko k’ebyokulonda.
Bukedde
· 22d
Aba Mother's Union baakusonda obukadde 400 okumaliriza ekizimbe mwe bakakkalabiza emirimu
Abakyala ba Mother’s Union bakubirizza abantu okwettanira emikutu gya Vision group kuba giweereza abantu mu buli kitundu kya ggwanga mu nnimi ez’enjawulo.
Bukedde
· Mar 30, 2025
Abanyazi ab’emmundu banyaze edduuka lya Mobile money obukadde bw’ensimbi emisana ttuku
Abanyazi ab’emmundu baliko edduuka lya Mobile money lyebanyaze obukadde bw’ensimbi emisana ttuku. Bino bibadde mu kibuga Luvgazi nga kireseewo akasattiro.
Bukedde
· Mar 31, 2025
Nnamwandu alaajanye ku mugagga ayagala okumutwalako ekibanja bba kye yamulekera
Alaajanidde Pulezidenti Museveni okumutaasa ku Juma Kayondo gw'agambye nti yeeyita mukozi mu State House
Bukedde
· Mar 25, 2025
Abaffamire y'omusomesa w'e Seeta eyattiddwa baagala bwenkanya
GAABADDE maziga, biwobe na kwazirana mu kusabira omubiri gw’abadde omusomesa wa Seeta High School Mbalala Campus, Ivan Oloya eyattiddwa ku Lwomukaaga.
Bukedde
· 28d
Omubaka Naluyima ajunye abalwadde ba ssukaali e Ntebe
OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y'e Wakiso, Betty Ethel Naluyima adduukiridde abalwadde ba sukaali mu ddwaaliro lya Ntebe Referral Hospital n'obugaali n’abalagira okukola dduyiro kubanga nakyo kiyambako nnyo mu kukuuma obulamu bwabwe obulwadde ne ...
Bukedde
· Mar 19, 2025
Poliisi ekutte mmotoka 2 kwe babadde batambuliza waragi n'amanda
POLIISI eriko emmotoka bbiri z'ekutte nga bazitambulizaako waragi n'amanda mu bitundu by'e Bukwo.
Bukedde
· Mar 18, 2025
Abaagala okusuuza Sheikh Shaban Mubajje office ensonga bazitutte wa Sipiika
ABASIRAMU abawakanya okulondebwa kwa Mufti Shaban Ramathan Mubajje bafunvubidde okumuggya mu ntebe ne batuusa okwemulugunya kwabwe mu palamenti.
Bukedde
· Mar 28, 2025
Abatuuze b’e Masaka bakaaba lwa bubbi bwa waya z’amasannyalaze
ABATUUZE ku byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwunga e Masakabanyiivu olw’obubbi bwa waya z’amasannyalaze obukudde ejjembe.
Bukedde
· Mar 9, 2025
Amagye ga Russia 50,000 gadduse mu ddwaaniro
Amagye ga Russia emitwalo 50,000 gaakadduka mu ddwaaniro emyaka esatu okuva eggwanga eryo bwe lyalumba Ukraine.
Bukedde
· Mar 26, 2025
Abakungu bongedde okunoonyeza NRM obuwagizi
ABABAKA ba Palamenti ab’ekibiina kya NRM bongedde okutalaaga Buganda mu kaweefube w’okulaba nga baggya ekitundu kino ku b’oludda oluvuganya mu kalulu ka 2026.
Bukedde
· 27d
Abakozi ba gavumenti abasoba mu 3,200 bebaganye okwanjulira Kaliisoliiso eby’obugagga byabwe.
Abakozi ba gavumenti abasoba mu 3,200 bebaganye okwanjulira Kaliisoliiso eby’obugagga byabwe.
Bukedde
· 28d
Ebivaako abantu okugwa mu kinaabiro ne bafa
Dr. Isaac Kakooza Musago, omusawo omukugu mu kujjanjabisa dduyiro (Physiotherapist) akolera ku Mobile Phyzio e Kansanga, agamba nti, teri kusannyalala kuva mu binaabiro wabula embeera y’okusannyaalala w’ebeera ekukwatidde nga bwe kisobola okutuukawo ng ...
Bukedde
· Mar 29, 2025
DFCU ereese enkola ya Xclusive Banking
BANK ya DFCU etongozza enkola etuumiddwa DFCU Xclusive Banking nga eno egendereddwamu okwanguyiza ba kasitooma baayo abatereka ensimbi ennyingi okufuna obuweereza obw'enjawulo.
Bukedde
· Mar 26, 2025
Chairman Toyota asaasidde nnyo abantu abafiiriddwa ebintu byabwe olw'enkuba wabula omusango n'agusalira KCCA
AKULIRA ekisinde kya PLU, Micheal Nuwagira amanyikiddwa nga Chairman Toyota anenyezza ekitongole kya KCCA okulemererwa okukola obuvunaanyizibwa bwakyo ekiviriddeko amazzi okwanjaala mu bitundu bya Kampala ne miriraano ne gatta abantu wamu n’okwonoona ...
Bukedde
· Mar 15, 2025
Ababaka bawagidde ekya Gavumenti okutwala amagye e South Sudan okukuuma emirembe
ABABAKA ba NRM bawagidde ekya gavumenti okutwala amagye ga UPDF e South Sudan okukuuma emirembe, ne bagamba nti kigenda kuyamba okukuuma eby’enfuna by’eggwanga n’ebyokwerinda.
Bukedde
· 25d
Batongozza ekibiina kya People Power Front
EKIBIINA ekipya ekyefaananyiriza NUP kitongozeddwa abakulemzeze baakyo ne bawaga nga bwe bagenda okuyuguumya mu kalulu ka 2026.
Bukedde
· Mar 26, 2025
Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka awabudde abagezaako okutabula eddembe eryaleetebwa Gavumenti ya NRM
AKULIRA enzikiriza y' Obumu Omukama Ruhanga Owobusobozi Bisaka asabye bannayuganda okwewala okulya mu bannaabwe enkwe naddala nga baweebwa ssente okutabangula emirembe egyaletebwa gavumeti ya pulezudeti Museveni.
Bukedde
· 24d
Ekizimbe kya Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II kigguddwawo wakati mukwetegekera amazaalibwa ga Kabaka
EKIZIMBE ekyabuddwamu Kabaka Muwenda Mutebi II kigguddwawo Nnaalinya Victoria Nkinzi ng’akabonero akakulu ak’ebijaguzo by’emyaka 70 gyagenda okukoona nga April 13,2025.
Bukedde
· Mar 31, 2025
Babbye obukadde 25 mu dduuka lya Mobile Money emisana ttuku
ABANYAZI ab’emmundu bazinzeeko edduuka lya Mobile Money emisana ttuku ne bassa abalibaddemu ku mudumu gw’emmundu be banyaga obukadde 25 .
Bukedde
· Mar 28, 2025
Muky. Museveni abasiimye ku tekinologiya
MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni atenderezza enkulaakulana ereeteddwa okuvumbulwa kwa tekinologiya ow’omulembe, kyokka n’asaba wabeerewo ekikolebwa ereme kufuuka kizibu.
Bukedde
· Mar 30, 2025
Idd e Makerere ; "Uganda yandibadde wala mu nkulaakulana ssinga buli muntu akola obuvunaanyizibwa bwe"
IMAM Sharif Kiggundu avumiridde abakulembeze abatakoze ku bizibu binyigiriza Bannayuganda amataba ne gatuuka okutta abantu awatali ataasa.
Bukedde
· Nov 2, 2022
What you didn't know about Mowzey Radio
Although music made him popular, at school he lived a quiet life. He could only stop at revealing that he lived at Bukaya in Jinja at his uncle’s home. You have probably chanced to his melodious voice and fell in love with it. The ever well-knitted ...